Jeremiah 49:1-6

Obubaka Obukwata ku Amoni

1 aEbikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
2 bNaye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
abo abagigoba,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
3 c“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
awamu ne bakabona n’abakungu.
4 dLwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
‘Ani alinnumba?’
5Ndikuleetako entiisa,
okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

6 e“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Copyright information for LugEEEE